EKITIIBWA KYO KIENE
OMUNUNUZI WAFFE;
EMIMWA GY'ABANTU BONNA
GIYIMBA ETTENDO LYO!
ERINNYA LYA YESU DDUNGI
LIMALAWO OKUTYA
LITULEETERA OBULAMU
'EMIREMBE MU NDA
AMAANYI GEKIBI GONNA
YESU YAGAMENYA;
EFE ABAALI ABASIBE,
TWAFUUKA BA DDEMBE!
BULI AKKIRIZA YESU
ALIROKOLEBWA;
N'ABO ABBAFIIRA MU YE,
KAAKANO BALAMU!
MUWULIRE MMWE ABANAKU
NAMMWE BAKASIRU;
BWE MUNAASEMBERA GY'ALI
MUNAAWONYEZEBWA!
MUKAMA WAFFE OW'EKISA
TUKEGAYIRIRA,
OTUYIGIRIZE FENNA
OKUKUSUTANGA
|